Proverbs 17:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enguzi eri nga jjembe ku oyo agiwa; buli w'adda aba wa mukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba, alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enguzi ebanga ejjinja ery'omuwendo eri oyo agiwa; N'emwesiguza nti enemukolera byonna byayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eriyo abalowooza nti okuwanga enguzi kubasobozesa byonna, era ne beesigula nti enguzi terina ky'eremererwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.