Proverbs 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyeewagudde anoonya kya kwesanyusa; buli kibuuliriro akinyooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka, era tawuliriza magezi gamuweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyeeyawula ku balala aba anoonya bibye yekka, Era awakanya amagezi gonna amatuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyeeyawula ku balala, aba yeenoonyeza bibye yekka, era aba awakanya ebyo abalala bye bayita ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu.