Proverbs 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga bw'omugagga kye kigo kye; abwefaanaanyiriza ng'ekisenge ekimukuuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi, era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugagga obugagga bwe ge maanyi ge, Era bulinga bbugwe omuwanvu okumutaasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagagga, balowooza nti ebyobugagga bye balina, kye kibuga kyabwe ekigumu, era nti kye kisenge ekigulumivu ekibataasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.