Proverbs 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuzikirira nga tekunnatuuka, omutima gw'omuntu gwegulumiza; sso nno obwetoowaze bwe bukulembera ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwekulumbaza, kwe kukulembera okuzikirira; N'okwetoowaza, kwe kukulembera ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwekulumbaza, kwe kukulembera okuzikirira; n'okwetoowaza, kwe kukulembera okukuzibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.