Proverbs 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gw'omuntu gumugumya mu bulwadde, naye omutima ogwennyise ani ayinza okugugumira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gw'omuntu omumalirivu, gumuwanirira mu bulwadde. Naye omwoyo oguterebuse, ani ayinza okugugumiikiriza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obumalirivu bw'omulwadde, buwanirira obulamu bwe; naye bw'aterebuka, nga n'endasi zimuggwaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?