Proverbs 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya, n'okutu kw'abagezi kunoonya okumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gw'omutegeevu gunoonya okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abategeevu, bayigga bya kuyiga; abantu ab'amagezi, banoonya bya kumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.