Proverbs 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'oluganda anyiiziddwa, muzibu okusinga ekibuga ekinywevu, n'empaka ziri ng'omuyingo ku kigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize, era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyangu okuwamba ekibuga eky'amaanyi, okusinga okutabagana n'ow'oluganda anyiize, Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuddamu okutabagana n'owooluganda anyiize, kizibu okusinga okuwaguza mu kisenge ekigumu ekyetoolodde ekibuga; era ennyombo z'abooluganda, ziba nzibu okutawulula, nga bw'olaba okukutula oba okumenya bye basibisa ekigo ekigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.