Proverbs 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okufa n'obulamu biri mu buyinza bwa lulimi; abalwagala balya ku bibala ebiruvaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olulimi lwa buyinza okuleeta okufa oba obulamu. Kale omuntu abenga n'obuvunaanyizibwa, ku bintu byonna by'ayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.