Proverbs 18:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emikwano egimu gyanditwala mu kuzikirira, sso wabaawo ow'omukwano anywera okukira ow'oluganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abamu beefuula okuba ab'omukwano; Naye waliwo ow'omukwano akunywererako n'okusinga ow'oluganda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omukwano abamu, baba ba kiseera buseera; sso eriyo akunywererako n'okusinga owooluganda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira: Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda.