Proverbs 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugwenyufu bwe bujja nga n'okunyoomebwa kuzze; n'obuswavu bujja n'okuweebuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako, era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibi bireeta okunyoomebwa; obuswavu, buleeta n'okuvumibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukola ekibi, kuleeta okunyoomebwa; era awaba okuswazibwa, tewabulawo kuvumibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa.