Proverbs 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo ebiva mu kamwa k'omuntu, mazzi mawanvu; ensulo y'amagezi, mugga gwa ttumbiizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba, naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo omuntu by'ayogera bya magezi nga amazzi amawanvu; Ensulo ey'amagezi mugga ogukulukuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ebigambo by'ayogera, biyinza okubaamu amagezi agakka ng'ennyanja ey'eddubi, amalungi ng'amazzi agakulukuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta.