Proverbs 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuntubulamu buwa omuntu okugumiikiriza; okubikka ku bisobyo kimuweesa ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufumiitiriza okw'amagezi, kulwisaawo omuntu okusunguwala; Era okusonyiwa ekisobye kye kitiibwa kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omalanga kwekkaanya, n'otomala gasunguwala; era kiba kya kitiibwa, okusonyiwa abasobya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.