Proverbs 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma, naye okuganja ewuwe kuli nga ssuulwe ku muddo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye okwagala kwe kuli ng'omusulo ogunnyikiza omuddo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusungu bwa kabaka butiisa, ng'okuwuluguma kw'empologoma; naye okusaasira kwe kuweweeza ng'omusulo ogunnyikiza omuddo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.