Proverbs 19:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akwata ekiragiro aba akuumye bulamu bwe, naye agayaalirira ekkubo lye, alifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe, naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akuuma ekiragiro aliba n'emirembe, Naye atabissaako mwoyo alifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akuuma ebiragiro, aba mirembe; atabissaako mwoyo, afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.