Proverbs 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kangavvula omwana wo, kubanga kino kiwa essuubi; tewessanga ku kya kumutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kangavvulanga omwana wo, nga wakyaliwo essuubi; So tomuleka kuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonereza omwana wo, nga wakyaliwo essuubi ery'okumugolola, oleme kumuleka kuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.