Proverbs 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kirungi kubeera na bujjumbize awatali magezi; yadde okwanguyirira ate n'obulwa ekkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya, n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si kirungi obutamala kulowooza; N'oyo ayanguwa ennyo ng'atambula abula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Si kirungi okukola nga tomaze kulowooza; n'okubuguutanira ebintu, kukuleetera okuwubwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona.