Proverbs 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya Omukama kiwa obulamu: amutya alisulanga ntende, awatali kabi kamutawaanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okussaamu Mukama ekitiibwa, kuleeta okuwangaala; ali nakwo aba mumativu, era aba mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.