Proverbs 19:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunafu omukono agukweka mu kibya, tasobola na kuguzza eri kamwa ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugayaavu akoza emmere mu nva, N'alemwa okugissa mu kamwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugayaavu akoza emmere mu nva, n'alemwa okugyeteeka mu kamwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.