Proverbs 19:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, aba mwana asonyiwaza n'okuweebuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu n’obuyinike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atulugunya kitaawe, oba agoba nnyina mu maka ge; aba mwana kaggwensonyi, era asaanye okuvumirirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.