Proverbs 19:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omujulirwa omubi anyooma ennamula ey'obwenkanya; omumwa gw'ababi gumira bugobo obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima, n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omujulirwa ow'obulimba anyooma obwenkanya, N'abantu ababi, bawoomerwa okukola ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu awa obujulizi obw'obulimba, anyooma obwenkanya, n'abantu ababi, bawoomerwa okukola ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu.