Proverbs 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwavu, ne baganda be bonna bamukyawa, ne mikwano gye bamwesamba. Ababembereza n'ebigambo, naye tebalabikako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda b’omwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira, naye tabalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Akanda kubakoowoola, naye bo nga tebadda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwavu akyayibwa baganda be bonna; leero alabisa mikwano gye! Abo bamwewala. Akanda kubakoowoola, olugenda tebadda!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze.