Proverbs 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'owonyezebwa ekkubo ebbi, abantu ab'enjogera emmambaavu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukuwonyanga mu kkubo ebbi, Eri abantu aboogera ebikyamya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kukuwonyenga okukola ebitasaana, era kukuwonyenga abo aboogera ebitabula abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo;