Proverbs 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama y'agaba amagezi, mu kamwa ke mwe muva okutegeera n'okumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama y'agaba amagezi, Ebigambo bye, bye bituwa okumanya n'okutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama ye agaba amagezi, ye atuwa okumanya n'okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera: