Proverbs 20:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu by'akola omwana mw'alabirwa oba ebikolwa bye birungi, bituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omwana omuto by'akola, biraga bw'ali: oba nga mulongoofu, era nga mwesimbu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.