Proverbs 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekyo kibi; ekyo kibi!” omuguzi bw'agamba; naye bw'agenda, nga yeewaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula; naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuguzi, ajerega ky'alamuza, naye bw'amala okugula, agenda yewaana bw'akisuuzizza obusuuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugenda n'alyoka yeenyumiriza.