Proverbs 20:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu gy'ali n'amayinja g'omuwendo nkuyanja, naye emimwa egyogera n'obutegeevu, jjinja lya kkula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri, naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'ogera eby'amagezi kya buyonjo eky'omuwendo omungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eriyo zaabu, era eriyo amayinja ag'omuwendo mangi, naye eky'omuwendo ekitasangikasangika, ye muntu ayogera eby'amagezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi.