Proverbs 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyambalo ky'omuntu kitwale, ky'asinzeeyo okweyimirira omuyise; kitwale ng'omusingo bwe yeeyimirira omugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi, kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu eyeeyimirira gw'atamanyi, asaana aggyibweko ky'asinzeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.