Proverbs 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enteekateeka zo zikole nga bwe weebuuza; olutalo lutabaale ng'obuuliriddwa bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kola entegeka nga weebuuza ku magezi, bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyagala okubuulirirwa mu by'oteekateeka okukola; n'okulwana olutalo, kyetaaga abawi b'amagezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi.