Proverbs 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma, amusosonkereza okunyiiga yetta yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma. Amusunguwaza akosa obulamu bwe yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma; kale okumusunguwaza, kuba kwetta wekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma: Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye.