Proverbs 20:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama y'alambika entambula y'omuntu; awo nno omuntu asobola atya okutegeera amakubo ge?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yafuga okutambula kw'omuntu; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye afuga entambula yaffe. Kale omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo mu bulamu bwe ly'akwata?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagenda g'omuntu gava eri Mukama; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?