Proverbs 20:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumala gawongayo kintu kubeera kwesuula mu mutego, ate oluvannyuma oli n'adda ku bweyamo bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama, naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba kwesuula mu mutego, okwanguyiriza okusuubiza Mukama ekintu; N'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba kwesuula mu mutego, okwanguwa okusuubiza Mukama ekintu, n'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyambika eri omuntu, okwogera ng'ayanguyiriza nti Kitukuvu, Awo ng'amaze okweyama n'alyoka abuuza.