Proverbs 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ow'amagezi awewera eri ababi, abavugirako namuziga ey'enso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi, n’ababonereza awatali kusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka ow'amagezi azuula abakola obubi, N'ababonereza n'obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ow'amagezi azuula abasobya, n'ababonereza n'obukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka ow'amagezi awewa ababi, Era abaleetako nnamuziga ewuula.