Proverbs 20:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'omuntu ye ttawaaza y'Omukama; egenda yeekenneenya munda muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu, n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gw'omuntu ye ttaala ya Mukama, Emulisa byonna eby'omunda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwoyo gw'omuntu, ye ttaala Mukama gye yamussaamu, emulisa ne munda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gw'omuntu ye ttabaaza ya Mukama, Ekebera ebitundu byonna eby'olubuto eby'omunda.