Proverbs 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kya kitiibwa omuntu okwewala ennyombo, naye buli musiru yeetaba mu kulasana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kya kitiibwa okwewala ennyombo, Naye omusiru yayagala okuyomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kya kitiibwa okwewala ennyombo, era abasiru be baagala okuyombanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa: Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga.