Proverbs 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugayaavu tasambula mu budde; mu makungula alinoonya, naye talibaako ky'azuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugayaavu atayagala kulima mu nkuba ya ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugayaavu atalima ng'enkuba etonnye alinoonya ky'akungula, nga takiraba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.