Proverbs 20:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka atudde ku ntebe y'obulamuzi, awewera eri buli kibi n'amaaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bw'atuula okusala emisango, apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Asaasaanya obubi bwonna n'amaaso ge.