Proverbs 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omwala gw'amazzi, n'omutima gwa kabaka bwe guli mu mikono gy'Omukama, agulaza gy'aba ayagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gy’ayagala yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima gwa kabaka, guba mu buyinza bwa Mukama: agukyusa n'aguzza buli gy'ayagala, nga bwe bakyusa amazzi agafukirira ennimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa gy'ayagala yonna.