Proverbs 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'omubi guyaayaanira ekibi; munne tamusangako kisa ku maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi; talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emmeeme y'omubi yeegomba okukola ebibi, Teyinza kusaasira muntu mulala yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi, yeegomba okukola ebibi; tabaako n'omu gw'alumirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emmeeme y'omubi yeegomba obubi: Munne taganja n'akamu mu maaso ge.