Proverbs 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunyoomi bw'atanzibwa, ababuyabuya bafuna amagezi; omugezi bw'ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna; n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omunyoomi bw'abonerezebwa: atalina magezi ayiga; Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa yeeyongera okumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omunyoomi bw'abonerezebwa, n'atabadde mulabufu ayiga; era ow'amagezi bw'ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omunyoomi bw'abonerezebwa, atalina magezi agafuna: Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa aweebwa okumanya.