Proverbs 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutuukirivu yekkaanya ennyumba y'omubi; ababi abalaza mu kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi, era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda omutuukirivu, amanyi ebiri mu nnyumba y'omubi; Ababi balimeggebwa ne bazikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda Omutuukirivu, amanyi ebiri mu maka g'ababi; era alibamegga ne bazikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey'omubi; Ababi bwe basuulibwa ne babula.