Proverbs 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwenkanya bwe bugobererwa, kisanyusa omutuukirivu, naye kireetera aboonoonyi okutekemuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukolanga eby'amazima kisanyusa omutuukirivu; Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalungi, basanyukira obwenkanya; naye abo ababi, bubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukolanga eby'ensonga ssanyu lya mutuukirivu. Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.