Proverbs 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayagala amasanyu aliba mu kuwamma; ayagala omwenge n'ebyassava taligaggawala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayagala amasanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'ebyasava, taligaggawala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayagala eby'amasanyu, wa kwavuwala; awoomerwa omwenge n'ebyokulya ebisava, si wa kugaggawala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayagala essanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'amafuta taabenga mugagga.