Proverbs 21:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnyumba y'omugezi musigalamu eby'obugagga amakula bingi, naye omusiru alya buli ky'alina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnyumba y'omuntu ow'amagezi, mubeeramu obugagga obw'omuwendo omungi; Naye omusiru abumalawo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzigo n'ebyobugagga ebirala, bibeera mu maka g'ow'amagezi; naye omusiru, abimalawo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnyumba ey'omutuukirivu mulimu obugagga obw'omuwendo omungi n'amafuta; Naye omusirusiru abumira.