Proverbs 21:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitambiro by'omubi byenyinyalwa; alabisa nno ng'abireese n'ekigendererwa ekikyamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ssaddaaka y’omubi ya muzizo, na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Naddala bwe bagireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi, tesinga nnyo okuba ey'omuzizo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yeenyinyala ekitambiro ky'ababi, naddala bwe bakireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Bw'agireeta n'emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo?