Proverbs 21:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukola ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu kisanyusa Omukama okukira ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukola ebituufu n’eby’amazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukola ebituufu n'obwenkanya, Kukkirizibwa Mukama okusinga okumuwa ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukola ekituufu era eky'obwenkanya, kusiimibwa Mukama, okusinga okumuwa ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukola eby'ensonga n'eby'omusango Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka.