Proverbs 21:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enteekateeka z'omunyiikivu, kituufu, zituusa ku magoba, n'okwanguyiriza, kikakafu, kuvaamu bbula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; Naye oyo alulunkanira ebintu, yeereetako obwavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; naye oyo abuguutanira ebintu, yeereetako obwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebirowoozo eby'omunyiikivu bireeta bungi bwereere Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.