Proverbs 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waakiri okusulanga waggulu mu kalikonda ka kasolya, okusinga okugatta ennyumba n'omukazi omuyombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusula ku kasolya k’ennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waakiri okubeera mu kasonda ku nnyumba waggulu, N'otoba na mukazi muyombi, mu nnyumba engazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.