Proverbs 22:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erinnya eddungi lyegombesa okukira obugagga enkumu, n'obuganzi bukira zaabu oba ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi, n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulondawo erinnya eddungi, kusinga bugagga obungi. Okuganja n'okwagalibwa kusinga okuba ne ffeeza ne zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'oba wa kulondawo, londawo erinnya eddungi, okusinga okulondawo obugagga. Era okuganja n'okwagalibwa, kusinga okuba ne zaabu ne ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.