Proverbs 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ogoba omunyoomi, n'endasano nga zigenda; emisango n'ebivumo nga biwedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Empaka n'okuswala birikoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ogobawo omunyoomi, n'entalo ziggwaawo; era empaka n'okuswala bikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma.