Proverbs 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omumwa gw'omukazi omwenzi, bunnya buwanvu; oyo Omukama gw'asunguwalidde alibugwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malaaya mutego gwa kabi, akolimiddwa Mukama mw’afiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: Mukama gw'asunguwalidde aligwa omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: abo Mukama b'asunguwalidde, babugwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo.